Ssebo honourable,
Abatuuze bantumye.
Batuusa okusiima kwabwe.
Bagamba webale.
Omukama akuddizewo.
Ensonga obadde ozikutte kannabwala.
Ekiri ebule n’ebweya kiwawaza amatu.
Basaba kireme kutuuka wano.
Basaba tulemu kufa nga buwuka.
Mu ngeri y’emu bantumye.
Ekilwadde nga tekinaba kubanoga,
Enjala ya kubamalawo.
Emimmonde mu ttaka tegyabala,
Ebikata byakuza mitwe nga mmale.
Muwogo obuwuka bwamulya,
Ebikoola n’embuzi tezisobola kubigaya.
Emmwanyi twalitunze naye emiti mikalu.
Omuwemba n’obulo obunyonyi bwa bimalako.
Omuceere entobazi bazizimbamu amakolero,
Ku lukalu tegwadda bulungi.
Omunaku kaama naye ne kaama takyalanda.
Alandire wa omusana omwelere?
Ssebo honourable,
Amatooke abanyaguluzi baganogera ku mugogo,
batulekera bikolokomba.
Obukoko,
Obubuzi,
Obuliga,
Byonna batwala nga abawangudde akalulu.
Tetusobola kufuluma kutaasa.
Abakuuma ddembe omuggo bakuba gwa katale.
Ettaka kkalu telikyabaza mmere.
Obujanjalo tusimba bufu.
Ebinyebwa twabivako.
Emimmonde tulilrako ssunsa na ttimpa.
Ssebo honourable,
Twawulira ku mmere egabwa.
Ewaffe tesange malalo?
Okunaaba engalo zzo tunaaba,
Naye eky’okulya tewali.
Abakyala bazinaba kuzisonseka baana mu kamwa.
Amata mu mabere gaggwamu,
Ag’ente nago tegakyesigika.
Atuma omukulu tamagamaga,
Naye nange nzikiriza ntume,
Tusaba tulowozebweko!