Ssebo mwami Lumumba,
Nze omuvubuka ali mu lugendo,
Nze kaddugala ali mu lugendo lw’okweyubula.
Nze musaayi muto amalobozi ga
“the future is bright ahead of you”
gwe gavugira mu matu.

Nze kawandula bigambo,
Olumu nno bimbula nempuuna,
Olumu nno bimbula ne nnekyawa,
Olumu nno bimbula ne nnesooza.

Ssebo mwami Lumumba,
Akola obulungi asiimwa abaganda baagera.
Kitalo nnyo tosobola kundaba nga nkusiima!
Kitalo nnyo tosobola kundaba nga ntontoma!
Kitalo nnyo kati wafuuka ezikaza engoye!

Emyaka tubala 60 okuva lwewatugendako,
Ku myaka emito ennyo baakumiza omusu,
Omuzira w’eggwanga okufa ng’enfuunzi!
Omwagalwa w’abangi okuttibwa ng’eyannamaaso!
Baliba balaba kaki abampembe abo!

Ssebo mwami Lumumba’
Eno bbaluwa yakusiima.
Besiimye abaakulabako,
Twesiimye abakusomako.
Twesiiimye abakuwandiikako.

Omulamwa gw’okununula Africa gwatuuka.
Omumuli wakuma era gwakwata.
Omukululo waleka munene
tweyama okugutwala mu maaso.

Ssebo mwami Lumumba,
Okuyiga luzzi lwa nsulo telukala.
Eby’okuyiga ku gwe ttomoni.
Ommutima gw’eggwanga,
Obumalirivu n’obutekkiriranya,
Mmenye ki ndeke ki?

Ssebo mwami Lumumba,
“awalungi tewaba wamwe.”
Nkusubiza okunywerera ku nkolayo.
Webale kungigiriza mutima gwa gwanga.
Abaliddawo ndibanyumiza ku musajja
eyayitibwanga Lumumba.
Wummula mirembe.

©Nsubuga Muhammed (NZE)

Join our mailing list

We promise to only send you great stories you might have missed once a week.

You May Also Like

The Evolution of Bobi Wine

Andrew Kaggwa traces the evolution of musician Bobi Wine from a troublesome childhood in the ghettos of Kamwokya to a national political symbol of resistance

Radio & Weasel: The Music of Our Youth

Andrew Kaggwa reflects on the musical genius of Moses Radio, one half of the duo Radio and Weasel, who passed away on February 1 2018

Usher Komugisha: From Queen Of Kwepena To Globetrotting Sports Pundit

The wide-ranging interest in sports would become the fuel for a career in sports journalism, which the adult Usher would become famed for, reporting and commentating on sports as invariably as she had played them.

The Big Hearted Girl: Revisiting Susan Magara’s Murder

David Kangye and Andrew Kaggwa look back at the gruesome murder of the 28 year-old accountant and our response to it